2 Samuel 16:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka n'agamba Ziba nti: “Bino byaki by'oleese?” Ziba n'ayanukula nti: “Endogoyi za ba mu nnyumba ya kabaka beebagale, emigaati n'ebibala eby'ekyeya bya basajja bo balye; evviini y'oyo anaaba alakasidde mu ddungu kw'ananywa.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabaka n’abuuza Ziba nti, “Bino oleese bya ki?” Ziba n’addamu nti, “Endogoyi za ba mu nnyumba ya kabaka okwebagalanga, n’emigaati n’ebibala bya bavubuka okulya, ne wayini, w’abo abaliyongobera mu ddungu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kabaka n'abuuza Ziba nti, “Bino oleese byaki?” Ziba n'amuddamu nti, “Endogoyi za nnyumba ya kabaka okwebagalangako, emigaati n'ebibala eby'ekyeya bya balenzi bo okulyako, omwenge gwa kunywebwa abo abanaabanga bakoyedde mu ddungu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo kabaka n'abuuza Ziba nti: “Bino oleese byaki?” Ziba n'amuddamu nti: “Endogoyi za ba mu nnyumba yo, ayi kabaka, okwebagalanga. Emigaati n'ebibala eby'omu kyeya bya balenzi bo okulya, n'omwenge gwa kunywebwa abanaaba bakooyedde eyo mu ddungu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kabaka n'agamba Ziba nti Bino amakulu gaabyo ki? Ziba n'ayogera nti Endogoyi za ba mu nnyumba ya kabaka okwebagalanga; n'emigaati n'ebibala eby'ekyeya bya balenzi okulya; n'omwenge abaliyongobera mu ddungu banywe.