2 Samuel 16:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Akitofeli n'agamba nti: “Weebake ne basebeyi ba kitaawo be yaleka okukuuma olubiri. Yisirayeli yenna bw'anawulira bwe weekyayisizza ewa kitaawo, bonna abakuwagira bajja kweyongera amaanyi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Akisoferi n’addamu nti, “Weebake n’abakyala ba kitaawo be yalekawo okulabirira olubiri. Isirayiri yenna bwe banaawulira ng’ofuuse ekyenyinyalwa eri kitaawo, banaddamu amaanyi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Akisoferi n'addamu Abusaalomu nti, “Genda weegatte n'abazaana bakitaawo b'alese okukuuma olubiri; Isiraeri yenna balikiwulira balimanya nga kitaawo akukyaye, olwo abantu bonna abali naawe ne balyoka beeyongera amaanyi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ahitofeeli n'agamba Abusaalomu nti: “Genda weebake ne baka kitaawo be yaleka okukuuma olubiri. Awo buli muntu ali mu Yisirayeli anaakiwulira, anaamanya nti kitaawo akutamiddwa, era bonna abali naawe, baneeyongera amaanyi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Akisoferi n'agamba Abusaalomu nti Yingira eri abazaana ba kitaawe b'alese okukuuma ennyumba: awo Isiraeri yenna baliwulira nga kitaawo akutamiddwa: awo emikono gya bonna abali naawe ne giryoka giba n'amaanyi.