2 Samuel 16:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bakolera Abusalomu weema ku lubalaza olwo ku nnyumba waggulu, ne yeebaka ne basebeyi ba kitaawe nga Yisirayeli yenna alaba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ne basimbira Abusaalomu eweema waggulu ku nnyumba ne yeebaka n’abakyala ba kitaawe, nga Isirayiri yenna balaba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne baterawo Abusaalomu eweema waggulu ku nnyumba; Abusaalomu n'agenda neyeegatta n'abazaana ba kitaawe nga Isiraeri yenna alaba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ne bamusimbira weema waggulu ku nnyumba ya kabaka, Abusaalomu n'ayingiramu ng'abantu bonna balaba, ne yeebaka ne baka kitaawe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne bamutimbira Abusaalomu eweema waggulu ku nnyumba; Abusaalomu n'ayingira eri abazaana ba kitaawe mu maaso ga Isiraeri yenna.