2 Samuel 16:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu nnaku ezo amagezi Akitofeli ge yawanga nga gatwalibwa ng'ageeyeebuzizza ku kigambo kya Katonda; Dawudi ne Abusalomu bwe batyo bwe baatwalanga ebigambo bya Akitofeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu biro ebyo okuteesa kwa Akisoferi, kwatwalibwanga okuba nga kuva eri Katonda, era Dawudi ne Abusaalomu bwe batyo bwe baatwalanga okuteesa kwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu biro ebyo amagezi gonna Akisoferi ge yawanga gakkirizibwanga nga agavudde eri Katonda; era Dawudi ne Abusaalomu ne bagagobereranga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu biro ebyo amagezi Ahitofeeli ge yawanga, gakkirizibwanga ng'ago omuntu g'aba yeebuuzizza ku Katonda, era Dawudi ne Abusaalomu bwe batyo bwe baagasiimanga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'okuteesa kwa Akisoferi, kwe yateesanga mu biro ebyo, kwabanga ng'omuntu bw'abuuza awali ekigambo kya Katonda: bwe kutyo bwe kwabanga okuteesa kwonna okwa Akisoferi eri Dawudi era n'eri Abusaalomu.