2 Samuel 16:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka n'agamba nti: “Muzukkulu wa mukama wo aluwa?” Ziba n'ayanukula kabaka nti: “Asigadde mu Yeruzaalemu; agambye nti: ‘Olwa leero ennyumba ya Yisirayeli ejja kunziriza obwakabaka bwa kitange.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabaka n’amubuuza nti, “Ate muzzukulu wa mukama wo ali ludda wa?” Ziba n’amuddamu nti, “Yasigadde mu Yerusaalemi, kubanga yalowoozezza nti, ‘Leero ennyumba ya Isirayiri eneenziriza obwakabaka bwa jjajjange.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kabaka n'abuuza nti, “Mefibosesi mukama wo ali ludda wa?” Ziba n'amuddamu nti, “Asigadde Yerusaalemi kubanga agambye nti, ‘Leero Abaisiraeri banziriza obwakabaka bwa jjajjange!’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka n'abuuza nti: “Ye, muzzukulu wa mukama wo ali ludda wa?” Ziba n'agamba kabaka nti: “Asigaddeyo mu Yerusaalemu, kubanga agamba nti: ‘Kaakano Abayisirayeli bananziriza obwakabaka bwa jjajjange.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kabaka n'ayogera nti N'omwana wa mukama wo ali ludda wa? Ziba n'agamba kabaka nti Laba, abeera e Yerusaalemi: kubanga ayogedde nti Leero ennyumba ya Isiraeri erinziriza obwakabaka bwa kitange.