2 Samuel 16:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka n'agamba Ziba nti: “Byonna ebibadde ebya Mefiboseti, kati bibyo.” Ziba n'agamba nti: “Nkuvunnamira, singa nno nsanze ekisa mu maaso go, mukama wange kabaka.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo kabaka n’agamba Ziba nti, “Byonna ebibadde ebya Mefibosesi, kaakano bibyo.” Ziba n’ayogera nti, “Neeyanzizza, era ŋŋanje mu maaso go, mukama wange kabaka.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo kabaka n'agamba Ziba nti, “Byonna ebya Mefibosesi kaakano bibyo.” “Ziba n'addamu nti Neeyanziza, n'eyongere okuganja mu maaso go, ayi mukama wange kabaka.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo kabaka n'agamba Ziba nti: “Byonna ebibadde ebya Mefiboseti, kaakano bibyo.” Ziba n'agamba nti: “Businze, Ssaabasajja! Neeyongere okuganja, mu maaso go, mukama wange.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kabaka n'agamba Ziba nti Laba, ebya Mefibosesi byonna bibyo. Ziba n'ayogera nti Neeyanze; ŋŋanje mu maaso go, mukama wange, ai kabaka.