2 Samuel 16:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi bwe yali atuuka e Bakurimu, ne wavaayo omusajja, nga wa mu ssiga lya nnyumba ya Sawulo, erinnya lye Semeyi, mutabani wa Gera; n'ajja nga bw'avumirira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo kabaka Dawudi bwe yali ng’anaatera okutuuka e Bakulimu ne wajja omusajja ow’omu kika ky’ennyumba ya Sawulo erinnya lye Simeeyi mutabani wa Gera; n’akolima nga bw’asembera okumpi ne we baali.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo kabaka Dawudi bwe yatuuka e Bakulimu, ne mufuluma omwo omusajja ow'oku nda y'ennyumba ya Sawulo, erinnya lye Simeeyi, mutabani wa Gera; n'afuluma n'ajja, ng'akolima.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka Dawudi bwe yatuuka e Bahurimu, n'evaayo omusajja erinnya lye Simeeyi mutabani wa Gera asibuka mu nnyumba ya Sawulo, n'ajja ng'ayogera ebivuma.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kabaka Dawudi bwe yatuuka e Bakulimu, laba, ne mufuluma omwo omusajja ow'oku nda y'ennyumba ya Sawulo, erinnya lye Simeeyi, mutabani wa Gera: n'afuluma n'ajja, n'akolima ng'ajja ng'akolima.