2 Samuel 16:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'akasuukirira Dawudi amayinja n'abaweereza ba Dawudi bonna, newandibadde ng'eggye lyonna n'abakuumi bonna baali kabaka bamutambulira ku ddyo ne ku kkono.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’akasuukirira Dawudi n’abakungu ba kabaka amayinja, naye abaserikale bonna n’abakuumi ba Dawudi nga bamwetoolodde ku luuyi lwe olwa ddyo ne ku luuyi lwe olwa kkono.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'akasuukirira Dawudi amayinja n'abaddu bonna abaali naye, n'abasajja bonna ab'amaanyi baali beetoolodde kabaka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'akasuukirira Dawudi amayinja wamu n'abaweereza be bonna, n'abantu bonna, n'abasajja bonna ab'amaanyi abaali babugiriza Dawudi erudda n'erudda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'akasuukirira Dawudi amayinja n'abaddu bonna aba kabaka Dawudi: n'abantu bonna n'abasajja bonna ab'amaanyi baali ku mukono gwe ogwa ddyo ne ku gwa kkono.