2 Samuel 16:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe yalinga avumirira, Simeyi yagambanga nti: “Vvaawo, vvaawo ggwe omusajja ayiwa omusaayi, omusajja empongabyoya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Simeeyi n’akolima, nga bw’ayogera nti, “Fuluma, vva wano, ggwe omusajja eyasaaba omusaayi, era ataliiko bw’ali!
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Simeeyi n'avuma Dawudi ng'agamba nti, “Vaawo, genda, musajja ggwe omutemu era atagasa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Simeeyi n'ayogera ng'avuma Dawudi nti: “Genda, genda, musajja ggwe omutemu era ataliimu nsa!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Simeeyi n'ayogera bw'atyo bwe yakolima nti Vaawo; vaawo, ggwe omusajja ow'omusaayi, era omusajja wa Beriali: