2 Samuel 16:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama akusasudde omusaayi gwonna ogw'ennyumba ya Sawulo gwe wayiwa, n'olw'obwakabaka bwe bwe weekomya. Omukama awaddeyo obwakabaka bwo mu mikono gya mutabani wo Abusalomu. Zikusanze, kubanga oli musajja ayiwa omusaayi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama akusasudde olw’omusaayi gwonna gwe wayiwa mu nnyumba ya Sawulo, gwe waddira mu bigere. Mukama obwakabaka abugabidde mutabani wo Abusaalomu. Laba ekikutuusizza kw’ekyo, kubanga engalo zo zijjudde omusaayi!”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama awooledde eggwanga ku ggwe olw'okutta ab'ennyumba ya Sawulo, ggwe wanyagako obwakabaka bwe. Obwakabaka Mukama kyavudde abuwa Abusaalomu mutabani wo. Laba kaakano otuuse okuzikirira, kubanga oli mutemu!”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama awooledde eggwanga ku ggwe olw'okutta ab'ennyumba ya Sawulo, gwe wanyagako obwakabaka bwe. Obwakabaka Mukama kyavudde abuwa Abusaalomu mutabani wo. Laba kaakano otuuse okuzikirira, kubanga oli mutemu!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama azzizza ku ggwe omusaayi gwonna ogw'ennyumba ya Sawulo, mu kifo kye mw'oyima okufuga; era Mukama awaddeyo obwakabaka mu mukono gwa Abusaalomu mutabani wo: era, laba, oteegeddwa mu lukwe lwo ggwe, kubanga oli musajja wa musaayi.