2 Samuel 16:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abisayi mutabani wa Zeruya kwe kugamba kabaka nti: “Embwa eno enfu, lwaki evumirira mukama wange kabaka? Ka ŋŋende mmutemeko omutwe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Abisaayi mutabani wa Zeruyiya n’agamba kabaka nti, “Lwaki embwa eyo enfu ekolimira mukama wange kabaka? Leka ŋŋende mmutemeko omutwe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Abisaayi mutabani wa Zeruyiya n'agamba kabaka nti, “Embwa eno enfu lwaki ekuvuma? Nzikiriza ŋŋende mutemeko omutwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Abisaayi mutabani wa Zeruyiya, n'agamba kabaka nti: “Embwa eno enfu lwaki ekuvuma, mukama wange kabaka? Nzikiriza ŋŋende mmutemeko omutwe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Abisaayi mutabani wa Zeruyiya n'agamba kabaka nti Embwa eno enfu ekinaaba kimukolimizza mukama wange kabaka kiki? nsomoke, nkwegayiridde, mmuggyeko omutwe.