2 Samuel 17:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olwo n'omuzira, alina omutima ng'ogw'empologoma, encukwe ejja kumukwata, kubanga Yisirayeli yenna amanyi nti kitaawo muzira, na bonna abali naye bazira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olwo n’omuntu omuzira mu bazira, alina omutima oguli ng’omutima gw’empologoma, anaayongoberera ddala, kubanga Isirayiri yenna bamanyi kitaawo nga musajja mulwanyi, era n’abali naye basajja bazira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo era n'omuzira alina omutima oguliŋŋaanga omutima gw'empologoma, aligweramu ddala amaanyi; kubanga Isiraeri yenna bamanyi nga kitaawo musajja wa maanyi, n'abo abali naye nga basajja bazira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo nno n'omusajja omuzira era alina omutima ng'ogw'empologoma, ajja kuggweeramu ddala amaanyi kubanga Yisirayeli yonna emanyi nti kitaawo musajja wa maanyi, era nga n'abo abali naye basajja bazira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo era n'omuzira alina omutima oguliŋŋanga omutima gw'empologoma, aliyongoberera ddala: kubanga Isiraeri yenna bamanyi kitaawo nga musajja wa maanyi, n'abo abali naye nga basajja bazira.