2 Samuel 17:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nze ndowooza kino kye kyandibadde ekituufu: Yisirayeli yenna akukuŋŋaanireko, okuva ku Daani okutuuka ku Beeriseba, nga bangi butabalika ng'omusenyu ku nnyanja, ggwe wennyini obakulemberemu mu lutalo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Naye nze amagezi ge nkuwa ge gano: kuŋŋaanya gy’oli Isirayiri yenna okuva ku Ddaani okutuuka e Beeruseba, mu bungi bwabwe, ng’omusenyu ogw’oku nnyanja bwe guli obungi, ggwe mwene obakulembere mu lutalo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye nze amagezi genkuwa, kuŋŋaanya Isiraeri yenna, okuva ku Ddaani okutuuka e Beeruseba, babe bangi ng'omusenyu gw'ennyanja; naawe mwene otabaale.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'olwekyo amagezi ge mpa ge gano: kuŋŋaanya Abayisirayeli bonna okuva e Daani okutuuka e Beruseba babe bangi ng'omusenyu oguli ku lubalama lw'ennyanja, naawe wennyini ogende nabo mu lutalo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye nze nkuwa amagezi okukuŋŋaanya gy'oli Isiraeri yenna, okuva ku Ddaani okutuuka e Beeruseba, ng'omusenyu oguli ku ttale ly'ennyanja obungi; naawe mwene otabaale.