2 Samuel 17:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu buli kifo w'asuubirwa okusangibwa, tujja kumulumbayo, tumugwiire ng'omusulo bwe gugwa ku ttaka; ye ne basajja be tewali n'omu ati ajja kulama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tulimulumba yonna gy’alisangibwa, ne tumugwako ng’omusulo bwe gugwa ku ttaka. Ye newaakubadde abasajja abali naye, tewaliba n’omu aliba omulamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Tulimuketta ne tumuzindukiriza, netumugwako nga omusulo bwe gugwa ku ttaka; tulitta abasajja be bonna obutalekawo n'omu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tujja kumuzuula wonna w'anaabeera, tumugweko ng'omusulo bwe gugwa ku ttaka. Era ye ne basajja be, tubatte obutalekaawo n'omu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo tulimusanga mu kifo w'alirabikira, naffe tulimugwako ng'omusulo bwe gugwa ku ttaka: naye n'abasajja bonna abali naye tetulisigazaako n'omu.