2 Samuel 17:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bw'anaabaako ekibuga mw'ayingidde, Yisirayeli yenna ajja kuleeta emiguwa ku kibuga ekyo, tukisike, tukikube mu luwonvu, n'akayinja kaakyo akamu kati tekaliddayo kulabibwako.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’aliddukira mu kibuga, Isirayiri yenna, balireeta emiguwa, ne tukiwalulira mu mugga obutalekawo jjinja n’erimu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'aliddukira mu kibuga, kale Isiraeri yenna alireeta emigwa eri ekibuga ekyo, ne tukiwalulira mu mugga, okutuusa lwe watalirabikayo kayinja n'akamu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bw'anaddukira mu kibuga, Abayisirayeli bonna bajja kuleeta emiguwa mu kibuga ekyo, ekibuga ekyo tukiwalule okukituusa mu kiwonvu, waleme kusigalayo jjinja na limu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era nate bw'aliba nga agenze mu kibuga, kale Isiraeri yenna alireeta emigwa eri ekibuga ekyo, ne tukiwalulira mu mugga, okutuusa lwe watalirabikayo kayinja n'akamu.