2 Samuel 17:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kusayi n'agamba Zadoki ne Abiyatari bakabona nti: “Akitofeli yawadde Abusalomu n'abakadde mu Yisirayeli amagezi gano na gano, ate nze ne mpa bwe gati ne bwe gati.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Kusaayi n’ategeeza Zadooki ne Abiyasaali bakabona nti, “Akisoferi awadde Abusaalomu n’abakadde ba Isirayiri amagezi bwe gati ne bwe gati, naye nze mbawabudde okukola bwe bati ne bwe bati.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Kusaayi n'abuulira Zadoki ne Abiyasaali bakabona nti, “Bw'atyo ne bw'atyo Akisoferi bw'awadde Abusaalomu n'abakadde ba Isiraeri amagezi; ate bw'enti nange bwe mbawadde amagezi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Husaayi n'abuulira bakabona Zaddooki ne Abiyataari amagezi g'awadde Abusaalomu n'abakulembeze ba Yisirayeli bonna, era n'amagezi Ahitofeeli ge yali abawadde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Kusaayi n'agamba Zadooki ne Abiyasaali bakabona nti Bw'atyo ne bw'atyo Akisoferi bw'awadde amagezi Abusaalomu n'abakadde ba Isiraeri: nange mmuwadde amagezi bw'entyo ne bwe ntyo.