2 Samuel 17:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale nno mutume mangu ewa Dawudi, mumugambe nti: ‘Ekiro kino tosula ku misomoko mu ddungu, wabula somoka mangu; kabaka baleme kumumira n'abantu be bonna.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kaakano muweereze mangu obubaka mutegeeze Dawudi nti, ‘Ekiro kya leero tosula ku misomoko egy’omu ddungu; ssomoka, kabaka n’abantu bonna abali naye baleme okumalibwawo.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale nno mutume mangu mubuulire Dawudi nti, ‘Tosula mu kiro kino awasomokerwa mu ddungu; mu ngeri yonna asomoke, kabaka aleme okumalibwawo n'abantu bonna abali naye.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Husaayi n'abagamba nti: “Kale nno mutumire mangu Dawudi, aleme kusula ku nsomoko ey'omu ddungu, wabula asomoke mangu, ye kabaka n'abantu be bonna abali naye baleme kumalibwawo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale nno mutume mangu mubuulire Dawudi nti Tosula kiro kino ku misomoko egy'omu ddungu, naye tolema kusomoka; kabaka aleme okumalibwawo n'abantu bonna abali naye.