2 Samuel 17:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye waaliwo omuvubuka eyabalaba n'abuulira Abusalomu; bo ne badduka ne bagenda ku nnyumba y'omusajja omu mu Bakurimu; yalina oluzzi awo mu luggya lwe, ne bakkirira omwo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye waaliwo omuvubuka eyabalaba, n’agenda n’abuulira Abusaalomu. Amangwago bombi ne baddukira mu nnyumba ey’omwami omu mu Bakulimu. Yalina oluzzi mu luggya lwe; ne bakka omwo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye lwali lumu omulenzi n'abalaba n'ategeeza Abusaalomu; awo bombi ne bagenda mangu ne batuuka ku nnyumba y'omusajja e Bakulimu, eyalina oluzzi mu luggya lwe; ne bakka omwo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye lwali lumu ne wabaawo omulenzi eyabalaba, n'abuulira Abusaalomu. Awo bombi ne bagenda mangu, ne batuuka ku nnyumba y'omusajja e Bahurimu. Omusajja ono yalina oluzzi mu luggya lwe, ne bakka omwo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye omulenzi n'abalaba n'abuulira Abusaalomu: ne bagenda bombi mangu ne bajja mu nnyumba ey'omusajja e Bakulimu, eyalina oluzzi mu luggya lwe; ne bakka omwo.