2 Samuel 17:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
njagala mmulumbe ng'akooye, ayenjebuse, mmukube entiisa, abantu bonna abali naye badduke. Nzija kutta kabaka yekka,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndimulumba mu bukoowu bwe ne mu bunafu bwe ne mutiisatiisa, era n’abantu bonna abali naye balidduka. Ndikuba kabaka yekka ne mutta,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nja kumutuukako ng'akyali mukoowu era ng'aweddemu amaanyi, mmukube entiisa, n'abantu bonna abali naye badduke, nzite kabaka yekka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
mmutuukeko ng'akyali mukoowu era ng'aweddemu amaanyi, mmukube entiisa, n'abantu bonna abali naye badduke, nzite kabaka yekka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era naamutuukako ng'akooye n'emikono gye nga minafu ne mmutiisa: n'abantu bonna abali naye banadduka; era naakuba kabaka yekka: