2 Samuel 17:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abaweereza ba Abusalomu bwe bajja ew'omukazi mu nnyumba, ne babuuza nti: “Akimaazi ne Yonatani bali ludda wa?” Omukazi n'abaanukula nti: “Bayise buyisi ne balaga eri ku mugga.” Abasajja ne banoonya, bwe baabulwa, ne baddayo e Yeruzaalemu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo abasajja ba Abusaalomu bwe batuuka ew’omukyala ku nnyumba, ne bamubuuza nti, “Akimaazi ne Yonasaani bali ludda wa?” N’abaddamu nti, “Basomose akagga ak’amazzi.” Abasajja ne babanoonyako naye ne batalaba muntu yenna, ne baddayo e Yerusaalemi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abaddu ba Abusaalomu ne bajja eri omukazi mu nnyumba ne bamubuuza nti, “Akimaazi ne Yonasaani bali ludda wa?” Omukazi n'abaddamu nti, “Basomose akagga bagenze.” Awo bwe banoonya ne batabalaba ne baddayo e Yerusaalemi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo abaweereza ba Abusaalomu ne bajja ku nnyumba ne babuuza omukazi nti: “Ahimaazi ne Yonataani bali ludda wa?” Omukazi n'abaddamu nti: “Basomose akagga.” Awo bwe baanoonya ne batabalaba, ne baddayo e Yerusaalemu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abaddu ba Abusaalomu ne bajja eri omukazi mu nnyumba; ne boogera nti Akimaazi ne Yonasaani bali ludda wa? Omukazi n'abagamba nti Basomose akagga ak'amazzi. Awo bwe baamala okubanoonya ne batayinza kubalaba, ne baddayo e Yerusaalemi.