2 Samuel 17:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe baagenda, bali ne bavaayo mu luzzi, ne beeyongerayo, ne babuulira Dawudi kabaka nti: “Muyimuke, musomoke mangu omugga, kubanga Akitofeli abakoledde olukwe bwati ne bwati.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abasajja bwe baagenda, abaali beekwese ne bava mu luzzi ne bagenda ne bategeeza kabaka Dawudi. Ne bamugamba nti, “Golokoka osomoke mangu omugga, kubanga Akisoferi ateeseteese bw’ati ne bw’ati.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abaddu ba Abusaalomu nga bamaze okugenda, Akimaazi ne Yonasaani ne bavaayo mu luzzi ne bagenda ne babuulira kabaka Dawudi. Awo ne bagamba Dawudi nti, “Mugolokoke mangu musomoke kubanga Akisoferi abasalidde amagezi okubalwanyisa.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo nga bamaze okugenda, Ahimaazi ne Yonataani ne bavaayo mu luzzi ne bagenda, ne babuulira Dawudi. Ne bamugamba nti: “Musituke musomoke mangu amazzi, kubanga Ahitofeeli abasalidde amagezi okubalwanyisa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka nga bamaze okugenda ne balinnya ne bava mu luzzi ne bagenda ne babuulira kabaka Dawudi: ne bagamba Dawudi nti Mugolokoke musomoke amazzi mangu: kubanga gano ge magezi Akisoferi g'abasalidde.