2 Samuel 17:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi n'asituka n'abantu bonna abaali naye, ne basomoka Yorudani. Obudde bugenda okukya nga tewali n'omu atannasomoka mugga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Dawudi n’abantu bonna abaali naye ne bagolokoka ne basomoka Yoludaani; we bwakeerera nga tewali n’omu atasomose Yoludaani.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Dawudi n'asituka n'abantu bonna be yali nabo ne basomoka Yoludaani; emmambya okugenda okusala nga bamaze okusomoka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Dawudi n'abantu bonna abaali naye, ne basituka ne basomoka Yorudaani. Emmambya okugenda okusala nga bonna bamaze okusomoka Yorudaani.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Dawudi n'agolokoka n'abantu bonna abali naye ne basomoka Yoludaani: emmambya bwe yasala nga tekubuzeeko n'omu ku bo atannasomoka Yoludaani.