2 Samuel 17:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi n'agenda e Makanayimu, ne Abusalomu n'asomoka Yorudani n'abasajja bonna aba Yisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Dawudi n’agenda e Makanayimu, ne Abusaalomu n’abasajja bonna aba Isirayiri ne basomoka Yoludaani.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Dawudi n'ajja e Makanayimu. Abusaalomu naye n'asomoka Yoludaani ng'ali n'abasajja ba Isiraeri bonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Dawudi n'atuuka e Mahanayimu. Ne Abusaalomu n'asomoka Yorudaani ng'ali n'Abayisirayeli bonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Dawudi n'ajja e Makanayimu. Abusaalomu n'asomoka Yoludaani, ye n'abasajja ba Isiraeri bonna wamu naye.