2 Samuel 17:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abusalomu yali atadde Amasa ku ggye mu kifo kya Yowabu. Amasa oyo yali mutabani wa musajja eyayitibwanga Yitura Omuyisirayeli, eyawasa Abigayili muwala wa Yesse, mwannyina Zeruya, nnyina wa Yowabu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abusaalomu n’alonda Amasa okuba omuduumizi w’eggye mu kifo kya Yowaabu. Amasa yali mutabani wa Isira Omuyisimayiri eyawasa Abbigayiri muwala wa Nakasi muganda wa Zeruyiya nnyina Yowaabu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abusaalomu n'alonda Amasa okubeera omukulu w'eggye mu kifo kya Yowaabu. Amasa yali mutabani wa Isira Omuisiraeri eyali awasizza Abbigayiri muwala wa Nakasi, muganda wa Zeruyiya nnyina wa Yowaabu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abusaalomu yali alonze Amasa okukulembera eggye mu kifo kya Yowaabu. Amasa yali mutabani wa Yitura Omuyisirayeli, eyali awasizza Abigayili muwala wa Nahasi, era muganda wa Zeruyiya nnyina Yowaabu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abusaalomu n'afuula Amasa omukulu w'eggye mu kifo kya Yowaabu. Era Amasa yali mwana wa musajja erinnya lye Isira Omuisiraeri eyayingira eri Abbigayiri muwala wa Nakasi, muganda wa Zeruyiya nnyina Yowaabu.