2 Samuel 17:29 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
omubisi gw'enjuki, bbongo, endiga n'amata g'ente amakwafu. Baateebereza nti abantu baali bayala, bakoowu era bayonta mu ddungu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’omubisi gw’enjuki, n’omuzigo, n’endiga, ne bbongo, ne babiwa Dawudi n’abantu be okulya. Ne boogera nti, “Abantu enjala ebaluma, era bakooye, n’ennyonta ebalumidde mu ddungu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'omubisi gw'enjuki, n'omuzigo, n'endiga, n'amata g'ente amakalu, nga bamuleetera Dawudi n'abantu abali naye okulya; kubanga baayogera nti, “Abantu balumiddwa nnyo enjala ne nnyonta era bakoyedde nnyo mu ddungu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
n'omubisi gw'enjuki, n'amata aga bbongo, n'endiga, n'omuzigo, gw'ente ogukuze. Ebyo byonna ne babireetera Dawudi n'abantu abali naye, balye, kubanga baagamba nti: “Abantu balumiddwa enjala n'ennyonta, era bakooyedde mu ddungu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'omubisi gw'enjuki, n'omuzigo, n'endiga, n'amata g'ente amakalu, nga bamuleetera Dawudi n'abantu abali naye okulya: kubanga baayogera nti Abantu balumiddwa enjala era bakooye era balumiddwa ennyonta mu ddungu.