2 Samuel 17:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
olwo abantu bonna mbakomyewo gy'oli ng'omugole bw'adda ewa bba. Onoonya bulamu bwa muntu omu, bo abantu bonna bajja kubeera mu ddembe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
naye abantu abalala bonna ndibakomyawo gy’oli. Okufa kw’omusajja omu yekka gw’onoonya, kulikomyawo abantu bonna nga tebaliiko mutawaana.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ndyoke nkomyewo abantu bonna gy'oli, ng'omukazi bw'akomawo ewa bba. Gwe weetaaga okutta, ali omu, abantu bonna balyoke babe n'emirembe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ndyoke nkomyewo abantu bonna gy'oli, ng'omukazi bw'akomawo ewa bba. Gwe weetaaga okutta, ali omu, abantu bonna balyoke babe n'emirembe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'abantu bonna naabakomyawo gy'oli: omusajja gw'onoonya kyenkana bonna nga abakomyewo: kale abantu bonna baliba mirembe.