2 Samuel 17:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kusayi n'ayongerako nti: “Ggwe naawe omanyi kitaawo ne basajja be nga bwe bali abatabaazi ab'amaanyi, ate nga bakambwe ng'eddubu erinyagiddwako obwana bwalyo. Kitaawo amanyi eby'okulwana; tajja kusula awo awali eggye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omanyi kitaawo n’abasajja be nga basajja balwanyi era nga bakambwe ng’eddubu erinyagiddwako abaana baalyo. Ate n’ekirala, kitaawo mulwanyi mumanyirivu; tayinza kusula na baserikale.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era nate Kusaayi n'amugamba nti, “Omanyi kitaawo n'abasajja be nga basajja ba maanyi, era nga baliko obusungu mu myoyo gyabwe, nga obw'eddubu ennyagiddwako abaana baayo ku ttale; era kitaawo musajja mulwanyi, tayinza kusula mu bantu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Husaayi era n'agamba nti: “Omanyi bulungi nga kitaawo ne basajja be bazira nnamige, ba maanyi era bakambwe ng'eddubu enyagiddwako abaana baayo ku ttale. N'ekirala, kitaawo mumanyirivu mu by'entalo, tajja kusula na bantu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era nate Kusaayi n'ayogera nti Omanyi kitaawo n'abasajja be nga basajja ba maanyi, era nga baliko obusungu mu myoyo gyabwe, ng'eddubu enyagiddwako abaana baayo ku ttale: era kitaawo musajja mulwanyi, so talisula na bantu.