2 Samuel 17:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabekasinge nga na kati yeekwese mu mpuku oba awantu awalala wonna. Kasita wanaabaawo abatabaazi abattibwa mu kusooka, abantu bwe banaawulira bajja kugamba nti: ‘Abagoberezi ba Abusalomu babasanjaze.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne mu kiseera kino, ayinza okuba nga yeekwese mu mpuku oba mu kifo ekirala. Bw’anaasooka okulumba abantu bo, buli anaakiwulira anaagamba nti, ‘Bangi ku bagoberezi ba Abusaalomu battiddwa.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era kaakano yeekwese mu bunnya oba awantu awalala. Bwe wanaabaawo abafa mu lulumba olusooka, abanaakiwulira bajja kugamba nti, ‘abagoberezi ba Abusaalomu battiddwa nnyo.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era kaakano yeekwese mu bunnya oba awantu awalala. Bwe wanaabaawo abafa mu lulumba olusooka, abanaakiwulira bajja kugamba nti abagoberezi ba Abusaalomu battiddwa nnyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, kaakano yeekwese mu bunnya oba walala: awo olunaatuuka bwe wanaabaawo ku bo abamu abanaagwa olubereberye, buli anaawulira anaayogera nti Wabaddewo okuttibwa kungi mu bantu abagoberera Abusaalomu.