2 Samuel 18:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne wabaawo eyakiraba, n'abuulira Yowabu nti: “Ndabye Abusalomu ng'alengejjera ku mwera.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omu ku basajja bwe yakiraba n’ategeeza Yowaabu nti, “Laba nnalengedde Abusaalomu ng’awanikiddwa ku mwera.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne waba omusajja eyakiraba n'abuulira Yowaabu n'ayogera nti, “Laba, ndabye Abusaalomu ng'alengejjera ku mwera.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo omu eyalaba, n'abuulira Yowaabu n'amugamba nti: “Ndabye Abusaalomu ng'aleebeetera mu muvule.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne waba omusajja eyakiraba n'abuulira Yowaabu n'ayogera nti Laba, ndabye Abusaalomu ng'awanikiddwa ku mwera.