2 Samuel 18:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yowabu n'agamba omusajja eyamubuulira nti: “Wamulabye? Lwaki tewamukubiddewo n'agwa ku ttaka? Nze nandikuwadde sekeli za ffeeza kkumi n'omusipi ogw'obuzira.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yowaabu n’agamba omusajja eyajja okumubuulira nti, “Kiki, wamulabye? Kiki ekyakulobedde okumuttirawo? N’andikusasudde gulaamu kikumi mu kkumi na ttaano eza ffeeza ne nkuwa n’olukoba olw’obuzira.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yowaabu n'agamba omusajja eyamubuulira nti, “Oba nga omulabye kiki ekikulobedde okumufumita n'omutta? Nange nnandikuwadde ebitundu ebya ffeeza kkumi (10) n'olukoba.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yowaabu n'agamba omusajja eyamubuulira, nti: “Kiki? Omulabye? Kale lwaki tomuttiddeewo n'agwa wansi? Nandibadde nkuwa ebitundu kkumi ebya ffeeza, n'olukoba.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yowaabu n'agamba omusajja eyamubuulira nti Okulaba nno okirabye, kale kiki ekikulobedde okumukubira eyo wansi? nange nandikuwadde ebitundu ebya ffeeza kkumi n'olukoba.