2 Samuel 18:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye omusajja n'addamu Yowabu nti: “Nze ne bwe nandimpimiddwa mu ngalo zange sekeli za ffeeza lukumi, sandisitulidde mukono gwange ku mwana wa kabaka. Ffe ffennyini twewuliridde kabaka ng'akuutira ggwe, Abisayi ne Yittayi nti: ‘Ne bw'aba ani, mukuume omulenzi Abusalomu.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye omusajja n’amuddamu nti, “Ne bwe wandinsasudde kilo kkumi n’emu eza ffeeza, sandigololedde mukono gwange ku mwana wa kabaka. Ffenna twawulidde kabaka ng’abalagira ggwe, Abisaayi ne Ittayi nti, ‘Waleme okubaawo omuntu yenna anaakola Abusaalomu akabi ku lwange.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omusajja n'agamba Yowaabu nti, “Nebwewandimpadde ebitundu bye ffeeza lukumi (1,000), era sandigolodde mukono gwange ku mwana wa kabaka; kubanga twawulira bulungi kabaka nga akulagira ggwe ne Abisaayi ne Ittayi ng'agamba nti, ‘Mwegendereze tewaba akola akabi konna ku mulenzi Abusaalomu.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omusajja n'agamba Yowaabu nti: “Ne bwe nandikutte ku bitundu olukumi ebya ffeeza, sandigolodde mukono gwange kukola kabi ku mutabani wa kabaka, kubanga twawulira nga kabaka akulagira ggwe, ne Abisaayi, ne Yittayi, nti: ‘Mwegendereze, waleme kubaawo akola akabi ku mulenzi oyo Abusaalomu!’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omusajja n'agamba Yowaabu nti Newakubadde nga ŋŋenda okuweebwa mu ngalo zange ebitundu ebya ffeeza olukumi, naye sandigololedde mukono gwange ku mwana wa kabaka: kubanga twali tuwulira kabaka n'alagira ggwe ne Abisaayi ne Ittayi ng'ayogera nti Mwekuume waleme okubaawo anaakoma ku mulenzi Abusaalomu.