2 Samuel 18:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yowabu n'agamba nti: “Sijja kumala biseera bwe ntyo naawe.” Awo n'akwata obujogolo busatu, n'abusogga mu mutima gwa Abusalomu nga mulamu akyalengejjera ku mwera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yowaabu n’ayogera nti, “Sirina bbanga lya kukwonoonerako.” N’addira obusaale busatu n’abulasa mu kifuba kya Abusaalomu ng’akyali mulamu mu mwera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yowaabu n'ayogera nti, “Sijja kuddawo kutootatoota naawe bwe ntyo.” Kwekuddira obusaale busatu (3) n'abukuba Abusaalomu mu mutima bwe yali ng'akyali mulamu nga alengejjera ku mwera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yowaabu n'agamba nti: “Sijja kudda awo kumala biseera naawe.” N'akwata obusaale busatu n'abusindirira Abusaalomu mu mutima ng'akyali mulamu, ng'alengejjera mu muvule.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yowaabu n'ayogera nti Siyinza kutootatoota naawe bwe ntyo. N'addira obusaale busatu mu ngalo ze n'abumufumita Abusaalomu mu mutima, bwe yali ng'akyali mulamu wakati mu mwera.