2 Samuel 18:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yowabu n'afuuwa eŋŋombe, abantu ne balekera awo okuwondera Yisirayeli kubanga Yowabu yabayimiriza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yowaabu n’afuuwa ekkondeere, eggye ne lireka okugoberera Isirayiri kubanga Yowaabu yabayimiriza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yowaabu n'afuuwa ekkondeere abantu ne balekera awo okuwondera Abaisiraeri, ne bakomawo, kubanga Yowaabu yabayimiriza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yowaabu n'afuuwa eŋŋombe, abantu ne balekera awo okuwondera Abayisirayeli, ne bakomawo, kubanga Yowaabu yabayimiriza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yowaabu n'afuuwa ekkondeere abantu ne bakomawo okugoberera Isiraeri: kubanga Yowaabu yabaziyiza.