2 Samuel 18:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne baddira Abusalomu ne bamukasuka mu kinnya ekinene eyo mu kibira, ne bamutuumako entuumu nnene nnyo ey'amayinja. Bo Abayisirayeli bonna ne badduka ne badda mu weema zaabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne batwala Abusaalomu, ne bamusuula mu lunnya oluwanvu mu kibira, ne bamutuumako amayinja. Isirayiri yenna ne badduka nga buli muntu adda ewuwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne batwala omulambo gwa Abusaalomu ne bagusuula mu bunnya obunene obwali mu kibira, ne bagutuumako entuumo y'amayinja ennene ennyo; awo Abaisiraeri ne baddukira buli muntu mu maka ge.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne batwala Abusaalomu ne bamusuula mu kinnya ekinene ekyali mu kibira, ne bamutuumako entuumu ennene ennyo ey'amayinja. Awo Abayisirayeli bonna ne badduka buli omu ng'adda mu maka ge.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne batwala Abusaalomu ne bamusuula mu bunnya buli obunene mu kibira, ne bamutuumako entuumo y'amayinja nnene nnyo: awo Isiraeri yenna ne baddukira buli muntu mu weema ye.