2 Samuel 18:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Akimaazi mutabani wa Zadoki n'agamba nti: “Leka nziruke mbuulire kabaka amawulire ag'essanyu nti: ‘Omukama amuwonyezza mu mikono gy'abalabe be.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Akimaazi mutabani wa Zadooki n’ayogera nti, “Ka nziruke, ntwalire kabaka amawulire nga Mukama bw’amulokodde mu mukono gw’omulabe we.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Akimaazi mutabani wa Zadoki n'ayogera nti, “Ka nziruke kaakano ntwalire kabaka ebigambo mutegeeze nga Mukama bw'amuwalanidde eggwanga ku balabe be.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Ahinaazi mutabani wa Zaddooki n'agamba Yowaabu nti: “Ka nziruke ŋŋende ntegeeze kabaka, nga Mukama bw'amuwonyezza abalabe be.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Akimaazi mutabani wa Zadooki n'ayogera nti Ka nziruke kaakano ntwalire kabaka ebigambo Mukama bw'amuwalanidde eggwanga ku balabe be.