2 Samuel 18:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi eggye n'alisindika, ekyokusatu nga kiri mu mikono gya Yowabu, ekyokubiri mu mikono gya Abisayi mutabani wa Zeruya muganda wa Yowabu, n'ekyokusatu mu mikono gya Yittayi Omugitti. Kabaka n'agamba abantu nti: “Nange nzija kugenda nammwe”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Dawudi n’abalagira bagende, ekimu kya kusatu nga kiduumirwa Yowaabu, ekimu kya kusatu ekirala nga kiduumirwa muganda wa Yowaabu, Abisaayi batabani wa Zeruyiya, n’ekimu kya kusatu ekirala nga kiduumirwa Ittayi Omugitti. Kabaka n’agamba abasajja nti, “Nange n’agenda nammwe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Dawudi n'agaba eggye nga liri mu bibinja bisatu (3) ebyenkanankana. Ekibinja ekimu ne kikulirwa Yowaabu, ekirala ne kikulirwa Abisaayi mutabani wa Zeruyiya, era muganda wa Yowaabu, n'ekirala ne kikulirwa Ittayi Omugitti. Kabaka n'agamba abantu nti, “Nange kennyini nja kugenda nammwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Dawudi n'agaba eggye nga liri mu bibinja bisatu ebyenkanankana. Ekibinja ekimu ne kikulirwa Yowaabu, ekirala ne kikulirwa Abisaayi mutabani wa Zeruyiya, era muganda wa Yowaabu, n'ekirala ne kikulirwa Yittayi Omugitti. Kabaka n'agamba abantu nti: “Nange kennyini nja kugenda wamu nammwe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Dawudi n'agaba eggye, ekitundu eky'okusatu nga kiri wansi w'omukono gwa Yowaabu n'ekitundu eky'okusatu nga kiri wansi w'omukono gwa Abisaayi mutabani wa Zeruyiya, muganda wa Yowaabu, n'ekitundu eky'okusatu nga kiri wansi w'omukono gwa Ittayi Omugitti. Kabaka n'agamba abantu nti Nange mwene siireme kutabaala nammwe.