2 Samuel 18:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yowabu n'amugamba nti: “Tojja kubeera muleesi wa mawulire malungi olwa leero; oligatwala olulala, kubanga mutabani wa kabaka y'afudde.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Yowaabu n’amugamba nti, “Si ggwe onootwala amawulire leero. Oligatwala olunaku olulala olutali lwa leero, kubanga mutabani wa kabaka afudde.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yowaabu n'amugamba nti, “Tootwale bigambo leero, naye olibitwala olulala; kubanga omwana wa kabaka afudde.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye Yowaabu n'amugamba nti: “Totwala mawulire ago olwaleero, oligatwala olulala. Naye olwaleero tojja kutwala mawulire, kubanga mutabani wa kabaka afudde.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yowaabu n'amugamba nti Tootwale bigambo leero, naye olibitwala olulala: naye leero tootwale bigambo, kubanga omwana wa kabaka afudde.