2 Samuel 18:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Akimaazi, mutabani wa Zadoki n'addamu okugamba Yowabu nti: “Oba kiba kibe, nkwegayiridde ndeka mpondere Omukuusi.” Yowabu n'agamba nti: “Ate ogukuddusa, mwana wange? Tolina mawulire ganakuweesa mpeera.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Akimaazi mutabani wa Zadooki n’agamba Yowaabu nate nti, “Nkwegayiridde, nzikiriza mmale gagoberera Omukusi.” Yowaabu n’amuddamu nti, “Mutabani wange, kiki ekinaaba kikutwala ate nga tolina mawulire g’onootwala aganakuweesa ekirabo?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Akimaazi mutabani wa Zadoki n'agamba Yowaabu omulundi ogwokubiri nti, “Nkwegayiridde nange ka male gadduka ngoberere Omukusi.” Yowaabu n'amugamba nti, “Mwana wange oyagalira ki okudduka nga toweebwe mpeera olw'ebigambo byo?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Ahimaazi mutabani wa Zaddooki n'addamu okugamba Yowaabu nti: “Ka kibe ki oba ki, nange ka nziruke ngoberere Omukuusi.” Yowaabu n'agamba nti: “Mutabani, oyagalira ki okudduka, nga toofune mpeera olw'amawulire ago?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Akimaazi mutabani wa Zadooki ne yeeyongera okugamba Yowaabu omulundi ogw'okubiri nti Ka mmale gadduka nange, nkwegayiridde, ngoberere Omukusi. Yowaabu n'ayogera nti Oyagalira ki okudduka; mwana wange, ataaweebwe mpeera olw'ebigambo?