2 Samuel 18:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ye n'ayanukula nti: “Oba kiba kibe, nze nzija kudduka.” N'amugamba nti: “Dduka.” Akimaazi n'adduka ng'akutte ekkubo ery'omu Museetwe, n'ayisa Omukuusi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’ayogera nti, “Ka mmale gagenda.” Awo Yowaabu n’amugamba nti, “Dduka.” Akimaazi n’addukira mu kkubo ery’olusenyi lwa Yoludaani n’ayisa Omukusi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Akimaazi n'addamu nti, “Naye ka mmale gadduka.” Yowaabu n'amugamba nti, “Dduka.” Awo Akimaazi n'addukira mu kkubo ery'Olusenyi n'ayisa Omukusi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yowaabu n'amugamba nti: “Kale dduka.” Ahimaazi n'adduka ng'akutte ekkubo ery'omu lusenyi, n'ayisa Omukuusi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
(N'ayogera nti) Naye ka mmale gadduka. N'amugamba nti Dduka. Awo Akimaazi n'addukira mu kkubo ery'Olusenyi n ayisa Omukusi.