2 Samuel 18:26 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukuumi n'alengera omuntu omulala adduka; omukuumi eyali waggulu w'omulyango n'akoowoola nti: “Eriyo omuntu omulala ajja adduka obw'omu.” Kabaka n'agamba nti: “N'oyo mubaka mulungi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omukuumi n’alengera omusajja omulala ng’ajja adduka, n’akoowoola omuggazi nti, “Laba omusajja omulala ajja adduka yekka.” Kabaka n’ayogera nti, “Naye ateekwa okuba ng’aleeta mawulire malungi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omukuumi ate n'alaba omusajja ow'okubiri ng'ajja adduka yekka; omukuumi n'akoowoola omuggazi n'amugamba nti, “Ate waliwo omusajja ow'okubiri era naye adduka yekka.” Kabaka n'ayogera nti, “Era naye aleese ebigambo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo omukuumi n'alaba omusajja omulala, naye ng'ajja adduka. Omukuumi n'akoowoola omuggazi w'omulyango n'amugamba nti: “Laba waliyo n'omusajja omulala ajja adduka ng'ali bwomu!” Kabaka n'addamu nti: “Ndowooza n'oyo amawulire g'aleese malungi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omukuumi n'alaba omusajja ow'okubiri ng'adduka: omukuumi n'akoowoola omuggazi n'ayogera nti Laba, omusajja ow'okubiri ng'adduka yekka. Kabaka n'ayogera nti Era naye aleese ebigambo.