2 Samuel 18:27 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ate omukuumi n'agamba nti: “Eyasoose ndaba enziruka ye efaanana ng'eya Akimaazi mutabani wa Zadoki.” Kabaka n'agamba nti: “Musajja mulungi, amawulire g'aleeta malungi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo omukuumi n’ayogera nti, “Kindabikira nga enziruka ey’oli akulembedde eri ng’eya Akimaazi mutabani wa Zadooki.” Kabaka n’ayogera nti, “Oyo musajja mulungi era ajja n’amawulire malungi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omukuumi n'ayogera nti, “Ndaba nga omusajja akulembedde adduka nga Akimaazi mutabani wa Zadoki.” Kabaka n'ayogera nti, “Omusajja oyo mulungi n'ebigambo by'azze nabyo birungi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omukuumi n'agamba nti: “Ndaba ng'omusajja akulembedde adduka nga Ahimaazi, mutabani wa Zaddooki.” Kabaka n'agamba nti: “Oyo musajja mulungi, n'amawulire g'aleese malungi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omukuumi n'ayogera nti Ndowooza ng'enziruka y'oyo akulembedde eriŋŋanga enziruka ya Akimaazi mutabani wa Zadooki. Kabaka n'ayogera nti Ye musajja omulungi n'ebigambo by'azze nabyo birungi.