2 Samuel 18:28 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Akimaazi n'aleekaana n'agamba kabaka nti: “Kiri mulaala.” N'avunnamira kabaka; n'agwa ku ttaka nga yeevuunise ku maaso ge, n'agamba nti: “Omukama Katonda wo agulumizibwe awaddeyo abantu abaasitula emikono gyabwe okulwanyisa mukama wange kabaka.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Akimaazi n’ayogerera mu ddoboozi ery’omwanguka ng’agamba kabaka nti, “Byonna birungi.” N’avuunama mu maaso ga kabaka, ne yeeyala wansi n’ayogera nti, “Yeebazibwe Mukama Katonda wo, azikirizza abasajja abayimusizza omukono ku mukama wange kabaka.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Akimaazi n'akoowoola n'agamba kabaka nti, “Mirembe.” N'avuunama mu maaso ga kabaka n'agamba nti, “Atenderezebwe Mukama Katonda wo, awaddeyo abasajja abajeemera mukama wange kabaka.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Ahimaazi n'ayogera n'eddoboozi ery'omwanguka, n'agamba kabaka nti: “Mirembe!” N'avuunamira kabaka ng'omutwe gwe gutuukira ddala ku ttaka, n'agamba nti: “Mukama Katonda wo atenderezebwe, azikirizza abasajja ababadde bakujeemedde, ayi mukama wange kabaka.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Akimaazi n'akoowoola n'agamba kabaka nti Mirembe. N'avuunama amaaso ge mu maaso ga kabaka n'ayogera nti Atenderezebwe Mukama Katonda wo, awaddeyo abasajja abaagololera omukono gwabwe ku mukama wange kabaka.