2 Samuel 18:29 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka n'agamba nti: “Omulenzi Abusalomu ali bulungi?” Akimaazi n'agamba nti: “Nalabye akagugumuko akanene Yowabu we yatumidde omuweereza wa kabaka, naye omuweereza wo saategedde kyabaddeyo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo kabaka n’abuuza nti, “Omuvubuka Abusaalomu ali bulungi?” Akimaazi n’addamu nti, “Yowaabu bwe yabadde ng’anaatera okutuma omuddu wa kabaka, nange omuddu wo, nalabye oluyoogaano olunene, naye saategedde kyabadde wo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kabaka n'abuuza nti, “Omulenzi Abusaalomu gy'ali mirembe?” Akimaazi n'addamu nti, “Yowaabu bwe yantuma nze omuddu wo, nnalaba okubugutana naye ne sitegeera ebyaliwo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo kabaka n'abuuza nti: “Omuvubuka Abusaalomu ali bulungi?” Ahimaazi n'addamu nti: “Yowaabu bwe yantumye, nze omuweereza wo, ayi kabaka, nalabye abantu nga bali mu kabuguutano, naye saategedde kyabaddewo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kabaka n'ayogera nti Omulenzi Abusaalomu gy'ali mirembe? Akimaazi n'addamu nti Yowaabu bwe yatuma omuddu wa kabaka, nze omuddu wo, nalabye oluyoogaano olunene, naye ne simanya bwe lwabadde.