2 Samuel 18:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abantu ne baanukula nti: “Tojja kugenda naffe; ffe ne bwe tufaamu ekyokubiri, tebajja kutufaako nnyo. Bwe tuba tudduse, ffe tebajja kutufaako nnyo; naye mu ggwe omu muweramu mutwalo mulamba. Ekisinga obulungi, ggwe sigala mu kibuga otuwagirire eyo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye abasajja ne boogera nti, “Toteekwa kugenda naffe, kubanga ffe bwe tunadduka tebaatufeeko. Ekitundu ku ffe ne bwe tunaafa tebaafeeyo. Ggwe olimu abantu omutwalo gumu ku ffe ffenna. Ekisinga obulungi weeteeketeeke okutudduukirira ng’osinziira mu kibuga.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye abantu ne bagamba nti, “Tojja kugenda, kubanga ffe bwe tunadduka, abalabe tebajja kussaayo mwoyo kuffe. Wadde ku bantu baffe ne bwe kunaafaako ekimu eky'okubiri, era abalabe tebajja kussaayo mwoyo ku ffe. Naye ggwe wenkana abantu omutwalo mulamba (10,000), mu ffe. Kale nno ekisinga obulungi sigala, weeteeketeeke okutuddukirira nga osinzira mu kibuga.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye abantu ne bagamba nti: “Tojja kugenda, kubanga ffe bwe tunadduka, abalabe tebajja kussaayo mwoyo ku ffe. Wadde ku bantu baffe ne bwe kunaafaako ekimu ekyokubiri, era abalabe tebajja kussaayo mwoyo ku ffe. Naye ggwe wenkana abantu omutwalo mulamba, mu ffe. N'olwekyo kirungi osigale mu kibuga mw'oba osinziira okutuweereza ab'okutudduukirira.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye abantu ne boogera nti Tootabaale ggwe: kubanga ffe bwe tunadduka tebasseeyo mwoyo eri ffe; so ffe bwe tunaafaako ekitundu kyaffe, tebasseeyo mwoyo eri ffe: naye ggwe ku ffe wenkana kakumi omuwendo: kale nno ekisinga obulungi weeteeketeeke okutudduukirira ng'oyima mu kibuga.