2 Samuel 18:31 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukuusi n'atuuka n'agamba nti: “Wulira amawulire amalungi, mukama wange kabaka; olwa leero Omukama akuddiddemu n'akuwonya mu mikono gya bonna abakusitukiramu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Omukusi n’atuuka, n’ayogera nti, “Wulira amawulire amalungi mukama wange kabaka. Mukama akulokodde leero mu mukono gw’abo bonna abakuyimukiramu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo n'Omukusi naye n'atuuka; n'ayogera nti, “Ndeetedde mukama wange kabaka ebigambo; kubanga leero Mukama awalanye eggwanga ku abo bonna abajeemera mukama wange kabaka.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo n'Omukuusi n'atuuka n'agamba nti: “Mukama wange kabaka, nkuleetedde amawulire. Mukama awooledde eggwanga olwaleero ku abo bonna abaakujeemera.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale, laba, Omukusi n'ajja; Omukusi n'ayogera nti Ndeetedde mukama wange kabaka ebigambo: kubanga Mukama awalanye eggwanga lye leero ku abo bonna abaakugolokokerako.