2 Samuel 18:33 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabaka n’afuna ensisi, n’ayambuka mu kisenge ekyali waggulu wa wankaaki, n’akaaba. N’agenda nga bw’ayogera nti, “Mutabani wange Abusaalomu, mutabani wange, mutabani wange Abusaalomu. Singa nze nfudde mu kifo kyo, Abusaalomu, mutabani wange!”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo kabaka n'anakuwala nnyo, n'alinnya waggulu mu kisenge ekiri waggulu ku wankaaki, n'akaaba amaziga, era n'agenda ng'akuba ebiwoobe nti, “Woowe, omwana wange Abusaalomu! omwana wange Abusaalomu! omwana wange Abusaalomu! Kale singa nze nfudde mu kifo kyo! Mwana wange Abusaalomu, mwana wange!”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo kabaka n'anakuwala nnyo, n'alinnya waggulu mu kisenge ekiri waggulu ku wankaaki, n'akaaba amaziga, era n'agenda ng'akuba ebiwoobe nti: “Woowe, omwana wange Abusaalomu, omwana wange Abusaalomu, omwana wange Abusaalomu! Kale singa nze nfudde mu kifo kyo! Mwana wange Abusaalomu, mwana wange!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kabaka ne yeeraliikirira nnyo n'alinnya n'agenda mu nju eri ku wankaaki n'akaaba amaziga: awo ng'agenda n'ayogera bw'atyo nti Ai, mwana wange Abusaalomu, mwana wange, mwana wange Abusaalomu! singa nkufiiridde, ai Abusaalomu, mwana wange, mwana wange!