2 Samuel 18:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka n'alagira Yowabu, Abisayi ne Yittayi nti: “Omulenzi Abusalomu mumukwata na kisa olw'okubeera nze.” Abantu bonna baawulira nga kabaka bw'akuutira abagabe ku Abusalomu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabaka n’alagira Yowaabu, ne Abisaayi ne Ittayi ng’ayogera nti, “Omuvubuka Abusaalomu mumukwate n’ekisa ku lwange.” Abantu bonna ne bawulira kabaka ng’awa abaduumizi bonna ebiragiro ebikwata ku Abusaalomu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo kabaka n'alagira Yowaabu ne Abisaayi ne Ittayi ng'ayogera nti, “Mumukwata mpola ku lwange omulenzi, Abusaalomu.” Abantu bonna ne bawulira kabaka bwe yalagira abaami bonna ebigambo bya Abusaalomu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka n'alagira Yowaabu ne Abisaayi ne Yittayi ng'agamba nti: “Temukola kabi konna ku mulenzi oyo Abusaalomu, mumunkwatira bulungi!” Era abantu bonna ne bawulira nga kabaka alagira abakulu b'eggye bonna, ebikwata ku Abusaalomu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kabaka n'alagira Yowaabu ne Abisaayi ne Ittayi ng'ayogera nti Mumukwata mpola ku lwange omulenzi, Abusaalomu. Abantu bonna ne bawulira kabaka bwe yalagira abaami bonna ebigambo bya Abusaalomu.