2 Samuel 18:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eggye ne ligenda mu ddwaniro okulwanyisa Yisirayeli; olutalo lwali mu lukoola lwa Efurayimu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo eggye ne lifuluma ku ttale okulwana ne Isirayiri, olutalo ne luba mu kibira kya Efulayimu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abantu ne batabaala okulwana ne Isiraeri; olutalo ne luba mu kibira kya Efulayimu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ab'eggye lya Dawudi ne bagenda okulwanyisa Abayisirayeli. Olutalo ne lulwanirwa mu kibira kya Efurayimu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abantu ne batabaala okulwana ne Isiraeri: olutalo ne luba mu kibira kya Efulayimu.