2 Samuel 18:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eggye lya Yisirayeli ne liwangulibwa mu maaso g'abasajja ba Dawudi; abattibwa ku olwo ne baba bangi: abantu emitwalo ebiri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abasajja ba Isirayiri ne bakubibwa abasajja ba Dawudi, era bangi ne battibwa ku lunaku olwo. Baawera ng’emitwalo ebiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abantu ba Isiraeri ne bagobebwa eyo mu maaso g'abaddu ba Dawudi, ne waba eyo ku lunaku olwo okuttibwa kungi okw'abasajja emitwalo ebiri (20,000).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Abayisirayeli ne bawangulirwa eyo abaweereza ba Dawudi. Ku lunaku olwo ne babattamu abantu bangi abaawera emitwalo ebiri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abantu ba Isiraeri ne bagobebwa eyo mu maaso g'abaddu ba Dawudi, ne waba eyo ku lunaku olwo okuttibwa kungi okw'abasajja obukumi bubiri.