2 Samuel 18:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kati nno Abusalomu yagenda n'agwa mu basajja ba Dawudi; yali ali ku nnyumbu ye. Ennyumbu bwe yayita wansi w'omwera omunene ogusakaatidde, omutwe gwe ne guwambira mu muti, n'abeera awo ng'alengejjera wakati w'eggulu n'ensi; ennyumbu kwe yali atudde yasigala egenda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Abusaalomu n’asisinkana n’abasajja ba Dawudi. Yali yeebagadde ennyumbu ye. Ennyumbu n’eyita wansi w’amatabi amangi ag’omwera omunene, omutwe gwa Abusaalomu ne gulaaliramu, n’asigala ng’alengejja mu bbanga, ennyumbu gye yali yeebagadde n’egenda mu maaso.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Abusaalomu yali yeebagadde ennyumbu ye, abaddu ba Dawudi ne bamugwikiriza nga tategedde, n'adduka; ennyumbu ye neyita wansi w'amatabi amaziyivu ag'omwera omunene, omutwe gwe ne gguwagamira mu matabi g'omwera ogwo, n'alengejja, ennyumbu ye n'egenda mu maaso.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Abusaalomu yali yeebagadde ennyumbu, n'asisinkana abaweereza ba Dawudi nga tategedde. Ennyumbu n'eyita wansi w'amatabi amaziyivu ag'omuvule omunene. Awo omutwe gwe ne guwagamira mu matabi g'omuti ogwo, n'alengejjera mu bbanga, ennyumbu gye yali yeebagadde n'esigala ng'egenda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Abusaalomu yali ali awo n'asisinkana n'abaddu ba Dawudi. Abusaalomu ne yeebagala ennyumbu ye, ennyumbu n'eyita wansi w'amatabi amaziyivu ag'omwera omunene, omutwe gwe ne gukwata ku mwera, n'asitulibwa wakati w'eggulu n'ensi; ennyumbu gye yali yeebagadde n'etambula mu maaso.